Senga

Senga yalukanga emikeka.
Nga tumuleka waka.
Twagenderanga mu motoka.
Yatugambanga, teyamenyeka.
Leero abaana bagamba bamenyeka.
Enjala bazikweeka.

Senga yali ayagala nyo ebyokusoma.
Nga wakiri mu nyingo alabamu coma.
Nga wakuwa ekyokoka akuwa wokoma.

-MAGERO JOSEPH-

Omusomi!


Akeera kunkya,
Ayeera olujja,
Amazzi gakimibwa.
Ewaka balya kimu.
Anaaba,
Ayambala ezokusomero.
Esaati yamulekawo,
Empare yabilaka,
Engaato bamusuubiza wakuzilabako mukyomusanvu mubibuuzo byakamalirizo.
Yesuudde mu ddene.
Ayingira ekibiina,
Banne bakkalidde dda.
Omusomesa ayanjja ensonga.
Ebirowoozo byono biri ku buuji.
Wansi w’omutti ekibiina wekiri, empewo ekunta,
Obikoola byewuuba.
Omuyizi afuuna obuuji,
Emeeme ekkakana.
Okusoma kudamu,
Akaseera kekyemisana akagala nga awavva erinyo.
Olunaku lutuuse ku nkomerero ewaka adayo mangu olwobuvunanyizibwa bwalina.
Yaakutte omumuli gwebyokusoma ewakka.

-MAGERO JOSEPH-

Komawo

Obulamu bwange bweeba yali gaali,
Gwe mpagi.
Sisobola kukwelabira,
Ngo’lunaku lwebanzaala.
Naye wagenda butadda!,
Ng’ekikoola ekivudde ku mutti.
Mikwaano gyo jintegeeza,
Jjooli, olimusanyufu ng’akimezeza okwenjala.
Naye ate nze ggwe waali owadde e suubi,
Buli lwenatunulanga mu maaso go,
Nalabaanga ebiseera byaffe ebyomumaaso.
Naye Kati byonna,
Nfuuma bifuume! Komawo!

-MAGERO JOSEPH-

Abakyala

Abakyala,
Bayita mubinji.
Olunaku olumu,
Mumwaka telumala
Oba bandifunye mweezi?
Naye kale buli lunaku lwandibade lwaabwe.
Omusaala ku mirimu guzanyilwamu,
Tewali jebalopera.
Banjawulo,
Webataba mukifo tewabeera mirembe.
Badukanya ebintongole ebibezaawo obulamu bwafe.
Bakeera nga emambya tenasala,
Nebategeka ebyenkatika.
Naye tebasimibwa.
Babasasula kimu,
Kulyazamanyizibwa.
Bebaziira begwanga.
Bakolera mubugubi,
Awatali kussa mukono.
Bafuna ekiwubaalo mubulamu ku lwaabo bebabeera nabo.
Bano ddala bazira.
Banantagambwa kibi nga eligenda mufumbiro.

-MAGERO JOSEPH-

Mirembe

Awumuza ebilowoozo
Ngo’luffu kumaliiri.
Olususu lwe,
Bwakugamba nti lutukibwaako akasana,
Owakana,
Nanti lulinga olusiiba mu mazzi.
Lugonvu, ng’etooke elibobeede.
Bwayasamya akamwa, oyinza ogamba tayombangako,
Nanti ayogeza gonjebwa.
Bwamweenya negujabagira,
Nanti eriiso alina engeri jaalinyigamu.
Awa eddembe nga’olusuku olusalire obulungi.
Yoono afuusa enkumbi engalabi nga’ayiise mukitundu.
Yoono asanyuusa abato nga bakaaba.

MAGERO JOSEPH-

Mirembe

Okusoma mu Covid

Omusomi
Atudde mukibiina.
Atunulira ebiseenge,
Ebimwetoloode,
Atunula ku sawa.
Akaseera alinda kamu,
Kidde kuvuga, afulume.
Omusomesa byasomesa tabiliiko,
Wabula ajukira akalimu,
Akabade kamuwa ku nsimbi waaberedde ewaka.
Kati obulamu bumufundiride,
Talaba mugaso mu kusoma
Alaba nga ebikugira okuyingiza ensimbi,
Omusomesa ayolekede olusozi gambalagade okulaba nga tewali mwana alekebwa mabega.

-MAGERO JOSEPH-

Omwana womulembe gunno


Tasoobya
Buli nsoobi gyakola omuzadde waali okumuwolereza,
Ye mukulu mu makka,
Akuziddwa tagambwaako,
Kyayagala kilina okwolebwa,
Akuziddwa kuwoya woya,
Omuzadde tayagala kukola bimunyiiza.
Kale naye nakula nga’akimanyi tewali kuteesa,
Kubyayagala.
Okukubwa kwabazade kwekudako,
Nga takyasobola kumutusaako mbeera gyamukuririzaamu,
Enimi enzaalilwana abazadde bazisude muguluka,
Kyoka webatuuka mu nono nebagezaako okubanyonyola ebintu byebatamanyi,
Nolaaba akavuuyo!
Akaakyaama amamera…..

Lauryn

Perfect like an art piece,
Nice to the eyes.
Voice nice to the ears,
Like morning bird tweets.
Refreshing to the heart,
Like cool water on a sunny day.
Smile so breathtaking,
Like a gaze at the ripples over a cliff.
Peaceful like a river,
But principled like the sun.
Gentle like a sunset.
Everyone’s wish!

-MAGERO JOSEPH-

Suubi

Ekiire kibiika egulu,
Obude bwa kikome,
Enkuba etandika okutonya,
Ekitangaala kivaawo,
Okusigaala ewaka wekweeke, kyeekigujila,
Enjuba evaaayo,
Amabaloboozi gge’binyoonyi gawulirwa,
Musoke alabwaako mubwengula,
Embeera eliwo ewomeerwa amaaso,
Kaseera kalungi okubeera nomwagalwa,
Ekizikiza kililidwawo ekitangaala,
Tewali embeera yalubelera.

MAGERO JOSEPH-

Ekizikiza

Omwana teyayogede nti ekibiriti kyawedewo.
Ekibiriti kyatoobye,
Akacupa kamafuta bakasuula da,
Olutambi lwetaala lwagwaamu da,
Ekilawuli kyetaala kyayatika da,
Tadooba etooonya,
Ekuba ekiika ekikwaafu,

Solar yafa, tooci temuli manda, oweduuka emisubbawa jamugwaako, amasundiro gamafuta tegakyatunda mafuta gamu taala, esimu teziliiko muliro. “Buli omu sigala wooli” Toja wano waliwo buto ayokya, aani ali awo, byebigambo biliwo mukakyo kano!

Akatimba ka gas, empewo ekayiye, generator yakutuka akaguwa. Ekisigade kwebaka.

-MAGERO JOSEPH-